Ecclesiastes 4

Amaziga g’Abanyigirizibwa

1 aAte nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
kyokka nga tewali asobola kubagambako.
2 bNe ndowooza ku abo abaafa,
nga baali ba mukisa okusinga
abo abakyali abalamu;
3 cnaye abasinga abo,
y’oyo atannaba kuzaalibwa,
atannalaba bibi
obukolebwa wansi w’enjuba.
4 dAwo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.

5 eOmusirusiru awumba emikono gye,
ne yeezikiriza yekka.
6 fKirungi okuba n’emirembe emijjuvu
okusinga okujjula okubonaabona
n’okugoberera empewo.
7Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:

8 gnalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,
nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,
ne yeebuuza nti, “Nteganira ani
ne neefiiriza essanyu?
Kino nakyo butaliimu,
era tekiriiko kye kigasa.”

9Ababiri basinga omu,
kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
10Kubanga singa omu agwa,
munne amuyimusa.
Naye zimusanze oyo ali obw’omu,
bw’agwa tabaako amuyimusa.
11Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;
naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
12Omu awangulwa mangu,
kyokka ababiri bayinza okwerwanako.
Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.
13Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa. 14Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu. 15Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka. 16Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.

Copyright information for LugEEEE